2. Okusoma nga bw'osambajje ebirowoozo
by'omuwandiisi by'otalabamu mulamwa
oba omuzinzi. Kino kikureetereza nga
ggwe omusomi okutondawo ensonga zo
(Bosley, 2008)
Okusoma nga bw'okubaganya
ebirowoozo ku nsonga eziri mu
kiwandiiko.
3. Okwanganga ekiwandiiko n'ebibuuzo
ebiwerako
Okusokaasoka endowooza
y'omuwandiisi (naddala ezitaliiko
bukakafu buziruma) enkweze mu
kiwandiiko.
Okusoma nga bwe weebuuza nti
mulamwa ki ddala omuwandiisi gw'aliko
(Bosley, 2008: 286)
4. Okwetaba mu 'kafubo' n'omuwandiisi ng'oyita
mu kiwandiiko kye.
'Okubuuza' omuwandiisi okutangaaza ku
ensonga gy'ataggusiza bulungi.
Okusoma nga bw'ozuula oba ky'obadde
eteebereza okuddako kye kizzeeko. Bwe kiba
nga si kyekizzeeko n'ozuula lwaki era ani
alina obunafu wakati wo n'omuwandiisi.
Oteekwa okuba nga oli mwesimbu mu
5. Bye weetaaga okukola:
Lamba ekiwandiiko nga bw'okisoma: kozesa
ekkalaamu ez'erangi ez'enjawulo okugenda nga
oyawula endeeta y'ensonga ez'enjawulo.
Funza endowooza y'omuwandiisi egenda
yeeyolekera mu buli kiba.
Wandiika wansi enteebereza yo ku kiki
omuwandiisi ky'ayagala okuggyirayo ddala.
Kaakano weefumiitirize ku ngeri kino
gy'akituukirizaamu oba nedda.
6. Okugeza: Olugero Zinunula
Engeri Kawere gy'agattikamu ensi
ez'emirundi ebiri; enjingirire n'entuufu.
Ebikolwa by'akozesa abatonde be n'engeri
gy'agala tubalowoozeeko.
Endowooza ye eyakyekubiira ku busobozi
bw'abakyala.
7. Ekyokulabirako
eky'obukolokosi obw'essimba
Obunnamazima n'obukkirizika bw'ebintu
byonna bibuusibwabuusibwa ne
wankubadde bivuga bulungi era ne
biwoomera n'amatu agabiwulira.
Ensonga nga Zinunula okumegga enjovu
zitujja nnyo ku mulamwa
n'okubuusabuusa obutuufu bw'ebintu
ebirala Kawere by'atugamba.
8. Okutandika okusoma
n'obukolokosi obw'essimba
Yatuukiriza omulamwa oguli mu kiwandiiko
Somako katono, siriikiriramu, weebuuze
ebibuuzo ku ky'osomye, teebereza ekiddako
nga tonnaba kugenda mu maaso.
Weekenneenya enzimba y'ekiwandiiko.
Nzonga ki omuwandiisi z'agenda addingana
n'okussaako omulaka?
Weebuuze ensonga lwaki omuwandiisi
9. Ekyokukola 2
Weebuuze oba nga ddala 'kikukwatako nnyo
okumanya nti 'gundi tannaba kuwasa' mu
kiwandiiko?
Yawulawo wakati wa 'bwino' oba obujulizi
obuleetebwa okukakasa ensonga
y'omuwandiisi, endowooza n'endaba ye
ey'ebintu wamu enteebereza n'engeri gye
bimuleeteramu okukubira oba
okuwumbawumba nga bw'akola.
Zuula empungu oba emiwaatwa egiri mu
ngeri omuwandiisi gy'aleetamu ensonga ze.
10. Okukwataganya ekiwandiiko
n'empulira yo
Owulira otya ku kiwandiiko kino? Kikusina,
endowooza zaakyo zikujigijja, zisanyusa, za
ssimba, za bwenkanya?
Ekiwandiiko kikuggya kitya ku ndaba yo
ey'ebintu?
Ekiwandiiko kino waliwo omuntu gw'omanyi
gwe kikwatako obutereevu?
Kituukiriza kitya enteebereza gy'obadde nayo
ku kyo, oba kyawukanira wa ku ndoowooza
11. Okubuuza ebibuuzo eby'essimba
“Omusajja omufumbo okwebbako
n'omukazi” kitegeeza bukaba oba bwenzi:
naye lwaki omuwandiisi aleetamu
eby'okwanjula?
“Okuwaayo omutwalo” wano mu Buganda
kitegeeza nti omuwala asasuddwa, naye
omuwandiisi ensonga eno alinga agibuusa
amaaso. Lwaki ate akyayogera
'eby'okwebbako'? Omuwandiisi ono wa
ggwanga ki? Eddiini ye erina engeri
gy'emukugiramu okulowooza n'okuwandiika
12. Okutaputa okw'amakulu
Zuula ensonga erimu empungu n'obwa
'nnampawengwa' ogezeeko okulaba ntaputa ki
ez'enjawulo z'oyinza okfuna mu ndeeta
y'ensonga ezo. Obwannampawengwa buyinza
kuleetera butya omusomi w'ekiwandiiko
okuva ku mulama?
13. Ebijulize
Bosley, Lisa. “‘I Don’t Teach Reading’: Critical
Reading Instruction in Composition Courses,”
Literacy Research and Instruction 47:4 (January
2008): 285–308.
Notes de l'éditeur
Handout: first paragraph of “Etain,” first-day homework page